Zabbuli42lug_bib
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.
1Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.2Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?3Nkaabirira Mukamaemisana n’ekiro.Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”4Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yangenga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwangukan’okwebaza mu kibiina ekijaguza.5Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?Lwaki otabusetabuse mu nda yange?Essuubi lyo liteeke mu Katonda,kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;ye mubeezi wange.6Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,yeeraliikiridde;naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaanine ku nsozi engulumivu eza Kalumooni ne ku Lusozi Mizali.7Obuziba bukoowoola obuziba,olw’okuwuluguma kw’ebiyiriroamayengo n’amasingisira gobimpiseeko.8Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekirone muyimbira oluyimba lwe;y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.9Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,“Lwaki onneerabidde?Lwaki ŋŋenda nkungubagaolw’okujoogebwa abalabe bange?”10Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bangebancocca,nga bwe bagamba buli kiseera nti,“Katonda wo ali ludda wa?”11Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?Lwaki otabusetabuse mu nda yange?Weesigenga Katonda,kubanga nnaamutenderezanga,Omulokozi wange era ye Katonda wange.