Zabbuli31lug_bib

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,leka nneme kuswazibwa.Ndokola mu butuukirivu bwo.2Ontegere okutu kwooyanguwe okunziruukirira.Beera ekiddukiro kyange eky’olwaziera ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.3Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.4Omponye mu mutego gwe banteze;kubanga ggwe kiddukiro kyange.5Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo;ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.
6Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala;nze nneesiga Mukama.7Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo,kubanga olabye okubonaabona kwangeera omanyi ennaku endi ku mwoyo.8Tompaddeeyo mu balabe bange,naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.
9Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;amaaso gange gakooye olw’ennaku;omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.10Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyangene giggwaawo olw’okusinda.Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,n’amagumba ganafuye.11Abalabe bange bonna bansekerera,banneetamiddwa.Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,n’abandaba mu kkubo banziruka.12Nneerabiddwa ng’eyafa edda;nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.13Buli ludda mpulirayo obwamanga bangeya;bye banteesaakonga basala olukwe okunzita.
14Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama;nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”15Entuuko zange ziri mu mikono gyo;ondokole mu mikono gy’abalabe bangen’abangigganya.16Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.17Ayi Mukama tondeka kuswazibwa,kubanga nkukoowoola;leka abo ababi baswale,era bagalamire emagombe nga basirise.18Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimbakasirisibwe,kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo,nga babyogeza amalala n’okunyooma.
19Obulungi bwo,bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu,n’obuwa mu lwatuabo abaddukira gy’oli.20Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe,n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo,n’ennyombo z’abantune zitabatuukako.
21Mukama atenderezebwengakubanga yandaga okwagala kwe okungi,bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza.22Bwe natya ennyone njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.”Kyokka wampulira nga nkukaabiriran’onsaasira.
23Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna!Mukama akuuma abo abamwesiga,naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu.24Muddeemu amaanyi mugume omwoyommwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.