Zabbuli27lug_bib

Zabbuli ya Dawudi.

1Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;ani gwe nnaatyanga?Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;ani asobola okuntiisa?
2Abalabe bange n’abantu ababi bonnabwe banannumba nga baagala okunzita,baneesittalane bagwa.3Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,omutima gwange teguutyenga;olutalo ne bwe lunansitukirangako,nnaabanga mugumu.
4Ekintu kimu kye nsaba Mukama,era ekyo kye nnoonya:okubeeranga mu nnyumba ya Mukamaennaku zonna ez’obulamu bwange,ne ndabanga obulungi bwa Mukama,era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.5Kubanga mu biseera eby’obuzibuanansuzanga mu nju ye;anankwekanga mu weema ye,n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.
6Olwo ononnyimusangawaggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.
7Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;onkwatirwe ekisa onnyanukule!8Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”9Tonneekweka,so tonyiigira muweereza wo,kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.Tonneggyaako, so tonsuula,Ayi Katonda, Omulokozi wange.10Kitange ne mmange bwe balindeka,Mukama anandabiriranga.11Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,era onkulembere mu kkubo lyo,kubanga abalabe bange banneetoolodde.12Tompaayo mu balabe bange,kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,okunkambuwalira.
13Nkyakakasiza ddalanga ndiraba obulungi bwa Mukamamu nsi ey’abalamu.14Lindirira Mukama.Ddamu amaanyi, ogume omwoyo.Weewaawo, lindirira Mukama.