Zabbuli138lug_bib
Zabbuli Ya Dawudi.
1Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.2Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,ne ntendereza erinnya lyoolw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;kubanga wagulumiza ekigambo kyon’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.3Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.4Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.5Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.6Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.7Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,naye ggwe okuuma obulamu bwange;ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.8Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.Tolekulira ebyo bye watonda.