Zabbuli137lug_bib

1Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.2Ne tuwanika ennanga zaffeku miti egyali awo.3Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”
4Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukamamu nsi eteri yaffe?5Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,omukono gwange ogwa ddyo gukale!6Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyangesinga nkwerabira,ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaakookusinga ebintu ebirala byonna.
7Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;ne baleekaana nti, “Kisuule,kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”8Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,yeesiimye oyo alikusasula ebyonga naawe bye watukola.9Yeesiimye oyo aliddira abaana bon’ababetentera ku lwazi.