Zabbuli133lug_bib

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

1Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
2Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Aloonine gakulukutira mu kirevu;gakulukutira mu kirevu kya Alooni,ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.3Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisan’obulamu emirembe gyonna.