Zabbuli130lug_bib
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.2Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;otege amatu goeri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.3Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,ani eyandiyimiridde mu maaso go?4Naye osonyiwa;noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.5Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindiriraera essuubi lyange liri mu kigambo kye.6Emmeeme yange erindirira Mukama;mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.7Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;era y’alina okununula okutuukiridde.8Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggyamu byonoono bye byonna.