Zabbuli127lug_bib
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.
1Mukama bw’atazimba nnyumba,abo abagizimba bazimbira bwereere.Mukama bw’atakuuma kibuga,abakuumi bateganira bwereere.2Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,ate n’olwawo n’okwebakang’okolerera ekyokulya;kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.3Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.4Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.5Alina omukisa omuntu oyoajjuzza ensawo ye n’obusaale,kubanga tebaliswazibwa;balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.