Zabbuli124lug_bib
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
1Isirayiri agamba nti,singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,2singa Katonda teyali ku ludda lwaffeabalabe baffe bwe baatulumba,3banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.4Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,ne mukoka n’atukulukutirako;5amazzi ag’obusungu bwabwe agayiraganditukuluggusizza.6Mukama atenderezebweatatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.7Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kivaku mutego gw’abatezi;omutego gukutuse,naffe tuwonye!8Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama,eyakola eggulu n’ensi.