Zabbuli122lug_bib
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
1Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,“Tugende mu nnyumba ya Mukama!”2Ebigere byaffe biyimiriddemu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.3Yerusaalemi yazimbibwa okubaekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.4Eyo ebika byonna gye biraga,ebika bya Mukama,okutendereza erinnya lya Mukamang’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.5Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.6Musabirenga Yerusaalemi emirembe:“Abo abakwagala bafune ebirungi.7Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”8Olwa baganda bange ne mikwano gyangennaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”9Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.