Zabbuli121lug_bib
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,okubeerwa kwange kuva wa?2Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,eyakola eggulu n’ensi.3Taliganya kigere kyo kusagaasagana;oyo akukuuma taabongootenga.4Laba, oyo akuuma Isirayiritaabongootenga so teyeebakenga.5Mukama ye mukuumi wo;Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;6emisana enjuba teekwokyenga,wadde omwezi ekiro.7Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;anaalabiriranga obulamu bwo.8Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.