Zabbuli12lug_bib
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;abantu abeesigwa bonna baweddewo.2Buli muntu alimba munne;akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.3Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,na buli lulimi olwenyumiriza;4nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,kubanga ani alitukuba ku mukono.”5Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,nnaasituka kaakanone nnwanirira abo abalumbibwa.”6Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.Bigeraageranyizibwa n’effeezaerongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.7Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.8Ababi beeyisaayisanga bagulumiza ebitaliimu nsa.