Zabbuli111lug_bib
1Mutendereze Mukama!Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.2Mukama by’akola bikulu;bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.3Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.4Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.5Agabira abamutya emmere;era ajjukira endagaano ye buli kiseera.6Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.7By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,8manywevu emirembe gyonna;era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.9Yanunula abantu be;n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!10Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookeraera abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.