Zabbuli11lug_bib

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Mu Mukama mwe neekweka;ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?2Kubanga laba ababi baleega emitego gyabweegy’obusaale,balase abalina omutimaomulongoofu.3Emisingi nga gizikirizibwa,omutuukirivu ayinza kukola ki?”
4Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.Amaaso ge gatunuuliraera geetegereza abaana b’abantu.5Mukama akebera abatuukirivunaye omutima gwe gukyawa ababi,n’abakola eby’obukambwe.6Ababi alibayiwakoamanda ag’omuliro;n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
7Kubanga Mukama mutuukirivuera ayagala eby’obutuukirivu;abo abalongoofu be balimulaba.