Zabbuli101lug_bib
Zabbuli ya Dawudi.
1Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.2Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,naye olijja ddi gye ndi?Nnaabeeranga mu nnyumba yangenga siriiko kya kunenyezebwa.3Sijjanga kwereetereza kintukyonna ekibi.Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;sijjanga kubyeteekako.4Sijjanga kuba mukuusa;ekibi nnaakyewaliranga ddala.5Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalalasijja kubigumiikirizanga.6Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,balyoke babeerenga nange;akola eby’obutuukirivuy’anamperezanga.7Atayogera mazimataabeerenga mu nnyumba yange.Omuntu alimbasirimuganya kwongera kubeera nange.8Buli nkya nnaazikirizangaabakola ebibi bonna mu nsi,bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddalamu kibuga kya Mukama.