Engero
9
/
lug_bib
Empagi z’Amagezi Omusanvu
1
Amagezi gazimbye ennyumba yaago,
gagizimbidde ku mpagi musanvu.
2
Gategese ennyama yaago ne wayini
info
waago;
gategese ekijjulo.
3
Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere
mu bifo ebigulumivu nti,
4
“Buli atalina kutegeera akyameko wano!”
Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,
5
“Mujje mulye ku mmere yange
era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.
6
Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu,
era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”
7
Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa,
n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa.
8
Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye
nenya ow’amagezi naye anaakwagalanga.
9
Yigirizanga ow’amagezi naye aneeyongeranga okuba n’amagezi,
yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.
10
“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
11
Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo,
era olyongerwako emyaka.
12
Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba,
naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka.”
13
Omukazi omusirusiru aleekaana,
taba na mpisa era taba na magezi!
14
Era atuula mu mulyango gw’ennyumba ye,
ne ku ntebe mu bifo eby’ekibuga ebisinga obugulumivu,
15
ng’akoowoola abo abayitawo,
ababa batambula amakubo gaabwe abali ku byabwe.
16
Abagamba nti, “Buli alina okumanya okutono ajje muno.”
Era eri oyo atalina kutegeera agamba nti,
17
“Amazzi amabbe nga gawooma!
emmere eriibwa mu kyama ng’ewooma!”
18
Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira,
era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe.
Powered by Seed Bible API
expand_more
Search
All books
Old Testament
New Testament
chevron_left
Previous Chapter
Books
search
Search
explore
Discover
share
Share
chevron_right
Next Chapter