Engero24lug_bib
1Teweegombanga bakozi ba bibiera tobeesemberezanga.2Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu,era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo.3Amagezi ge gazimba ennyumba,n’okutegeera kwe kugiggumiza.4Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi,eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.5Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza,n’omuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi.6Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa,n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.7Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru,talina ky’asobola kwogera mu lukuŋŋaana olw’oku wankaaki.8Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi,aliyitibwa mukujjukujju.9Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona,abantu beetamwa omukudaazi.10Bw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu,olwo ng’olina amaanyi matono!11Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa,n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.12Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,”oyo akebera emitima aba talaba?Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi?Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?13Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi,omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.14Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso,n’essuubi lyo teririkoma.15Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu,tonyaganga maka ge.16Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka,naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana.17Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde,bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.18Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa,n’amusunguwalira.19Teweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi,so abakozi b’ebibi tobakwatirwanga buggya.20Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso,ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa.21Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka,era teweetabanga na bajeemu.22Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemuera ani amaanyi akabi akalibatuukako?