Engero14lug_bib
1Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye,naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.2Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Mukama,naye ow’amakubo amakyamu anyooma Mukama.3Ebigambo by’omusirusiru bye bimuviirako okukubwa,naye eby’abatuukirivu binaabakuumanga.4Awataba nte nnume ezirima ebyagi biba bikalu,naye emmere ennyingi eva mu maanyi gaazo.5Omujulizi ow’amazima talimba,naye ow’obulimba ayogera bya bulimba.6Omukudaazi anoonya amagezi n’atagalaba,naye okumanya kwanguyira omuntu ategeera.7Teweeretereza muntu musirusiru,kubanga tewali by’amagezi biva mu kamwa ke.8Omutegeevu mugezi kubanga afaayo okutegeera by’akola,naye atalina magezi musirusiru kubanga yeerimba nti amanyi.9Abasirusiru banyooma okugololwa nga bakoze ensobi,naye abalongoofu baagala emirembe.10Buli mutima gumanya okulumwa kwagwo,tewali ayinza kugusanyukirako.11Ennyumba y’abakozi b’ebibi erizikirizibwa,naye eweema y’abatuukirivu erikulaakulana.12Waliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu,naye ng’enkomerero yaalyo kufa.13Enseko zandibaawo naye ng’omutima gujjudde ennaku,era n’enkomerero y’essanyu eyinza okufuuka obuyinike.14Omuntu atalina kukkiriza alisasulwa empeera emusaanira olw’ebikolwa bye,n’omuntu omulungi naye alisasulwa eyiye.15Ow’amagezi amatono amala gakkiriza buli kigambo ky’awulira,naye omuntu omutegeevu yeegendereza amakubo ge.16Omuntu ow’amagezi atya Mukama n’aleka okukola ebibi,naye omusirusiru yeepankapanka era teyeegendereza.17Omuntu asunguwala amangu akola eby’obusirusiru,n’omukalabakalaba akyayibwa.18Abatalina magezi basikira butaliimu,naye abategeevu batikkirwa engule ey’okumanya.19Abakozi b’ebibi balivuunamira abatuukirivu,n’aboonoonyi ne bavuunama mu miryango gy’abatuukirivu.