Engero1lug_bib
1Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.2Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga,era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.3Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi,okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;4okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu,n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.5N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyigan’abategeevu beeyongere okubangulwa.6Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero,enjogera n’ebikokyo.7Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.