Okubala13lug_bib
Abakessi Kkumi na Babiri Baweerezebwa mu Kanani
1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,2“Tuma abasajja bagende bakette beetegereze ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa abaana ba Isirayiri. Mu buli kika kya bajjajja ojja kulondamu omusajja omu ku bakulembeze baakyo.”3Bw’atyo Musa n’abatuma okuva mu ddungu lya Palani, ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali. Bonna baali bakulembeze b’abaana ba Isirayiri.4Amannya gaabwe ge gano:Eyava mu kika kya Lewubeeni yali Sammuwa mutabani wa Zakula.5Eyava mu kika kya Simyoni yali Safati mutabani wa Kooli.6Eyava mu kika kya Yuda yali Kalebu mutabani wa Yefune.7Eyava mu kika kya Isakaali yali Igali mutabani wa Yusufu.8Eyava mu kika kya Efulayimu yali Koseya mutabani wa Nuuni.9Eyava mu kika kya Benyamini yali Paluti mutabani wa Lafu.10Eyava mu kika kya Zebbulooni yali Gadyeri mutabani wa Sodi.11Eyava mu kika kya Manase, ky’ekika kya Yusufu, yali Gaadi mutabani wa Susi.12Eyava mu kika kya Ddaani yali Ammiyeri mutabani wa Gemali.13Eyava mu kika kya Aseri yali Sesula mutabani wa Mikaeri.14Eyava mu kika kya Nafutaali yali Nakabi mutabani wa Vofesi.15Eyava mu kika kya Gaadi yali Geweri mutabani wa Maki.16Ago ge mannya ag’abasajja Musa be yatuma okugenda okuketta n’okwetegereza ensi eyo. Musa yali atuumye Koseya mutabani wa Nuuni erinnya Yoswa.17Musa n’abatuma okuketta n’okwetegereza ensi ya Kanani, n’abagamba nti, “Mwambuke nga muyita mu Negebu muggukire mu nsi ey’ensozi.18Mwetegerezenga ensi nga bw’efaanana, n’abantu baamu nga bwe bali, obanga ba maanyi oba banafu, obanga bangi oba batono.19Mulyetegereza obanga ensi mwe babeera nnungi oba mbi. Era muliraba ebibuga byabwe obanga tebiriiko bisenge bya bbugwe oba byetooloddwa bigo.20Mulikebera okulaba obanga ensi yaabwe ngimu oba nkalu, era obanga erimu emiti mingi oba temuli. Mwenywezanga ne muleetayo ku bibala eby’omu nsi eyo.” Ekyo kye kyali ekiseera ezabbibu nga zaakatandika okwengera.21Awo ne bambuka ne beetegereza ensi okuva mu ddungu lya Zini okutuuka e Lekobu okumpi n’awayingirirwa mu Kamasi.22Ne bambuka mu Negebu ne batuuka e Kebbulooni, era wano Akimaani ne Sesayi ne Talumaayi abazzukulu ba Anaki nga we babeera. Kebbulooni bwe kyamala okuzimbibwa waayitawo emyaka musanvu ne Zowani eky’omu Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa.23Ne batuuka mu kiwonvu ekiyitibwa Esukoline batemamu ettabi limu eryaliko ekirimba kimu ekya zabbibu, abantu babiri ne bakireetera ku musituliro. Era ne baleeta ne ku makomamawanga ne ku ttiini.24Ekifo ekyo ne kiyitibwa Ekiwonvu kya Esukoli, olw’ekirimba ekyo abaana ba Isirayiri kye baatemamu.