Okubala1lug_bib
Okubala Abantu
1Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri. N’amugamba nti:2“Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala.3Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe.4Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe.5“Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako:“Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;6mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;7mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;8mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;9mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.10Okuva mu baana ba Yusufu: mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi; mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.11Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;12mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;13mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;14mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;15mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”16Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.