Nekkemiya12lug_bib
Bakabona n’Abaleevi
1Bano be bakabona n’Abaleevi abaakomawo ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa:Seraya, ne Yeremiya, ne Ezera,2ne Amaliya, ne Malluki, ne Kattusi,3ne Sekaniya, ne Lekumu, ne Meremoosi,4ne Iddo, ne Ginnesoyi, ne Abiya,5ne Miyamini, ne Maadiya, ne Biruga,6ne Semaaya, ne Yoyalibu, ne Yedaya,7ne Sallu, ne Amoki, ne Kirukiya ne Yedaya.
Abo be baali abakulembeze ba bakabona ne baganda baabwe mu biro bya Yesuwa.8Abaleevi baali: Yesuwa, ne Binnuyi, ne Kadumyeri, ne Serebiya, ne Yuda ne Mattaniya awamu ne baganda be, abaakulemberanga ennyimba ez’okwebaza mu kusinza.9Bakubukiya ne Unni ne baganda baabwe bo, baayimiriranga nga baboolekedde mu biseera eby’okusinza.10Yesuwa yali kitaawe wa Yoyakimu, ate Yoyakimu nga ye kitaawe wa Eriyasibu, ne Eriyasibu nga ye kitaawe wa Yoyaada,11Yoyaada nga ye kitaawe wa Yonasaani, ate Yonasaani nga ye kitaawe wa Yadduwa.12Mu biro bya Yoyakimu, bano be baali abakulu b’ennyumba za bakabona:
eya Seraya, yali Meraya; eya Yeremiya, yali Kananiya;13eya Ezera, yali Mesullamu, eya Amaliya, yali Yekokanani;14eya Malluki, yali Yonasaani; eya Sebaniya, yali Yusufu;15eya Kalimu, yali Aduna; eya Merayoosi, yali Kerukayi;16eya Iddo, yali Zekkaliya; eya Ginnesoni, yali Mesullamu;17eya Abiya, yali Zikuli; eya Miniyamini ne Mowadiya, yali Pirutayi;18eya Biruga, yali Sammuwa; eya Semaaya, yali Yekonasaani;19eya Yoyalibu, yali Mattenayi; eya Yedaya, yali Uzzi;20eya Sallayi, yali Kallayi; eya Amoki, yali Eberi;21eya Kirukiya, yali Kasabiya; n’eya Yedaya, yali Nesaneeri.22Abakulu b’ennyumba z’Abaleevi abaakola mu biro bya Eriyasibu, ne Yoyada, ne Yokanaani ne Yadduwa, awamu ne bakabona, baawandiikibwa mu mirembe gya Daliyo Omuperusi.23Abakulu b’enju abaava mu bazzukulu ba Leevi okutuuka ku mulembe gwa Yokanaani mutabani wa Eriyasibu, ne bawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo.24Abakulembeze b’Abaleevi baali: Kasabiya, ne Serebiya, ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri, n’abaabayambangako nga baboolekedde, nga batendereza era nga beebaza, ng’ekibinja ekimu kiddamu ekirala kye biyimba, nga Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.25Mattaniya, ne Bakubukiya, ne Obadiya, ne Mesullamu, ne Talumoni, ne Akkubu be baakuumanga amawanika g’oku miryango.26Baaweerereza mu biro bya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa, mutabani wa Yozadaki, ne mu biro bya Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi.