Nakkumu3lug_bib

Ebibi bya Nineeve

1Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi!Kyonna ekijjudde eby’obulimban’obunyazi,ekitaggwaamu banyagiddwa.2Muwulire okuvuga kw’embooko,n’okuvuuma kwa namuziga z’amagaalin’ebigere by’embalaasi nga bwe bivugan’amagaali nga gakubaganira mu nguudo!3Laba eggye ery’embalaasi erirumba,n’ebitala ebitemagana,n’amafumu agamyansa.Abatuukiddwako ebisago nga bayitirivu,ne ntuumu ennene ez’emiramboegitamanyiddwa muwendo;abantu bagirinnyirira.4Bino byonna biri bityo kubanga Nineeve yeeweerayo ddala okwetunda eri abalabe ba Katonda obutasalako, nga malaaya omukulu,kye kibuga ekikyaamu ekitali kyesigwa ekyawubisa ebirala, omukulu w’obufumu,ekyafuula amawanga abaddu baakyo olw’obwamalaaya bwakyo,n’olw’obulogo bwakyo.5“Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye,“era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo.Ensi zonna ziriraba obwereere bwon’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.6Ndikukanyugira kazambi,era ndikufuula ekyenyinyalwane nkufuula eky’okwelolera.7Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti,‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’Abalikikubagiza baliva wa?”
8Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesiekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyirang’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna?Olukomera lwakyo gwali muggaera amazzi ge gaali bbugwe waakyo.9Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga.Ate nga Abapuuti n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.10Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.Abakungu baakyo baakubirwa obululu,n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.11Nineeve naawe olitamiira,olyekwekang’onoonya obuddukiro owone omulabe wo.
12Ebigo byo byonna biri ng’emitiiniegiriko ebibala ebisooka okwengera;bwe ginyeenyezebwane bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.13Laba abalwanyi bammwe balinafuwane batiitiira ng’abakazi.Enzigi z’ensi yonzigule eri abalabe bo.Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.
14Weenyweze bajja kukulumba!Weeterekere ku mazzi g’onoonywako.Nyweza ebisenge byo.Noonya ettaka olisambeoddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.15Omuliro gulikulya,ekitala kirikuzikiriza.Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime.Mweyongere obungi ng’enseenene,mwale ng’enzige.16Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammweokusinga emmunyeenye ez’oku ggulu.Naye ensi baligikaza okufaanana ng’enzige bwe zimalawo ensine ziryoka zibuuka.17Abakuumi bammwe bali ng’enzige,n’abakungu bammwe ng’ebibinja by’enzigeezibeera ku bisenge ku lunaku olw’obutiti.Enjuba bw’evaayo zibuukane ziraga etamanyiddwa.
18Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli,n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko.Abantu bo basaasaanira ku nsozinga tewali n’omu abakuŋŋaanya.19Tewali kisobola kuwonyakiwundu kyo ekinene bwe kityo.Bonna abawulira ebikuguddekobakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo.Ani ataakosebwaolw’ettima lyo eringi?Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?