Makko3lug_bib
1Awo Yesu n’ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze.2Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire.3Yesu n’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati.”4N’abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?”Naye ne batamuddamu.5Yesu n’abatunuulira ng’akambuwadde era nga munakuwavu nnyo olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.”N’agolola omukono gwe, ne guwona.6Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa n’Abakerodiyaani nga bwe banaamuzikiriza.
Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne17Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”18Andereya, ne Firipo, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo ne Saddayo, ne Simooni, Omukananaayo,19ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.
Ebibiina Bigoberera Yesu
7Awo Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja. Ekibiina kinene ekyava mu Ggaliraaya ne mu Buyudaaya ne kimugoberera.8N’abalala ne bava mu kibuga Yerusaalemi, n’abalala mu Idumaya, n’abalala ne bava emitala w’omugga Yoludaani n’okwetooloola Ttuulo ne Sidoni ne bamugoberera. Ekibiina ky’abantu bwe baawulira bye yali akola ne bajja gy’ali.9Yesu n’agamba abayigirizwa be eryato limubeere kumpi olw’ekibiina ekinene, ekibiina kireme kumunyigiriza.10Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olw’endwadde zaabwe.11Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.”12Naye n’agikomako gireme okumwatuukiriza.Yesu Alonda Abayigirizwa Ekkumi n’Ababiri
13Awo Yesu n’alinnya ku lusozi, n’ayita abo be yayagala, ne bajja gy’ali.14N’alonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira.15N’abawa n’obuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi n’ababiri be yalonda be bano:16Awo n’alonda ekkumi na babiri era be bano:Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne17Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”18Andereya, ne Firipo, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo ne Saddayo, ne Simooni, Omukananaayo,19ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.