Mikka5lug_bib

Omufuzi Ava mu Besirekemu

1Kuŋŋaanya amaggye go, ggwe ekibuga ekirina amaggye,kubanga tulumbiddwa.Omukulembeze wa Isirayiribalimukuba omuggo ku luba.
2“Naye ggwe Besirekemu Efulasa,newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda,mu ggwe mwe muliva alibeeraomufuzi wange mu Isirayiri.Oyo yaliwo okuva edda n’edda,ng’ensi tennabaawo.”
3Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayookutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala omwana,era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawoeri bannaabwe mu Isirayiri.
4Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kyemu maanyi ga Mukama,mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we.Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukuluokutuusa ku nkomerero y’ensi.5Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe.Omwasuli bw’alirumba ensi yaffen’abuna ebigo byaffe,tulimuyimbulira abasumba musanvu,n’abakulembeze munaana.6Abo be balifuga ensi ya Asuli n’ekitalaera ensi ya Nimuloodi nayo bagyonoone.Naye alitulokola eri Omwasulibw’alitulumba mu nsi yaffeera bw’aliyingira mu nsalo zaffe.
7Abantu ba Isirayiri abalisigalawo balibeerawakati mu mawanga agabeetoolodde,babe ng’omusulo oguva eri Mukama,ng’obukubakuba obutonnyeredde ku muddoobutalindirira muntuoba abaana b’abantu.8Ng’empologoma bw’ebeera n’ensolo endala ez’omu nsiko,abantu abaasigalawo aba Yakobo balibeera mu mawanga mangi agabeetoolodde;ate era ng’empologoma ento mu bisibo by’endiga,bw’egenda n’eyitamu n’etaagulataagulane wataba n’omu aziwonya.9Omukono gwo guliwangula abalabe bo,ne bonna abakuyigganya balizikirizibwa.10“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,“Ndizikiriza embalaasi zone nsanyaawo n’amagaali go.11Ndizikiriza ebibuga eby’omu nsi yoera mmenyemenye n’ebigo byo byonna.12Obulogo bwo ndibumalawoera toliddayo kukolima nate.13N’ebibumbe bye musinza ndibizikiriza.Ne nziggyawo n’amayinja ge mwawonga;temuliddayo nate kuvuunamira bakatondabe mwekoledde n’emikono gyammwe.14Era ndisigula Baasera okuva mu mmwe,ebibuga byammwe n’embizikiriza.15Era ndyesasuza ku mawanga agataŋŋondedden’obusungu n’ekiruyi.”