Matayo1lug_bib
Ekitabo ky’Olulyo lwa Yesu Kristo
1Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:2Ibulayimu yazaala Isaaka, Isaaka n’azaala Yakobo, Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.3Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali, Pereezi n’azaala Kezirooni, Kezirooni n’azaala Laamu.4Laamu yazaala Aminadaabu, Aminadaabu n’azaala Nasoni, Nasoni n’azaala Salumooni.5Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu, Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi. Obedi n’azaala Yese.6Yese yazaala Kabaka Dawudi.Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.7Sulemaani yazaala Lekobowaamu, Lekobowaamu n’azaala Abiya, Abiya n’azaala Asa.8Asa n’azaala Yekosafaati, Yekosafaati n’azaala Yolaamu, Yolaamu n’azaala Uzziya.9Uzziya n’azaala Yosamu, Yosamu n’azaala Akazi, Akazi n’azaala Keezeekiya.10Keezeekiya n’azaala Manaase, Manaase n’azaala Amosi, Amosi n’azaala Yosiya.11Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.12Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni: Yekoniya n’azaala Seyalutyeri, Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi.13Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi, Abiwuudi n’azaala Eriyakimu, Eriyakimu n’azaala Azoli.14Azoli n’azaala Zadooki, Zadooki n’azaala Akimu, Akimu n’azaala Eriwuudi.15Eriwuudi n’azaala Eriyazaali, Eriyazaali n’azaala Mataani, Mataani n’azaala Yakobo.16Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.17Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.