Okukungubaga4lug_bib

1Zaabu ng’ettalazze!Zaabu ennungi ng’efuuse!Amayinja ag’omuwendo gasaasaanyebuli luguudo we lutandikira.
2Abaana ba Sayuuni ab’omuwendoabaali beenkana nga zaabu ennungi,kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba,omulimu gw’emikono gy’omubumbi.
3Ebibe biyonsaabaana baabyo,naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa,bafaanana nga bammaaya mu ddungu.
4Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina,olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke;abaana basaba emmerenaye tewali n’omu agibawa.
5Abaalyanga ebiwoomererabasabiriza ku nguudo;n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaanekabali ku ntuumu ez’ebisasiro.
6Ekibonerezo ky’abantu bangekisinga ekya Sodomu,ekyawambibwa mu kaseera akatono,nga tewali n’omu azze kukibeera.
7Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira,nga beeru okusinga amata;n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu,era banyirivu nga safiro.
8Naye kaakano badduggala okusinga enziro,era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo.Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe;lukaze ng’ekiti ekikalu.
9Abafa ekitala bafa bulungiokusinga abafa enjala,kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawoolw’obutaba na mmere mu nnimiro.
10Abakazi ab’ekisa abaagala abaanabafumbye abaana baabwe;abaana abaafuuka emmereabantu bange bwe baazikirizibwa.
11Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi,era abayiyeeko obusungu bwe obungi.Yakoleeza omuliro mu Sayuuniogwayokya emisingi gyakyo.
12Bakabaka b’ensin’abantu ab’ensi endala tebakkiriza,nti abalabe n’ababakyawa baliyingiramu wankaaki wa Yerusaalemi.
13Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be,n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be,abaayiwa omusaayigw’abatuukirivu abaababeerangamu.
14Badoobera mu nguudonga bamuzibe;bajjudde omusaayiso tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe.
15Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu!Muviireewo ddala, so temutukwatako!”Bwe baafuuka emmombooze,amawanga gabagobaganya nga boogera nti,“Tebakyasaana kubeera wano.”
16Mukama yennyini abasaasaanyizza,takyabafaako.Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa,newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo.
17Amaaso gaffe gakooyeolw’okulindirira okubeerwa okutajja;nga tulindiriraeggwanga eriyinza okutulokola.
18Baatucoccane batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe;enkomerero yaffe n’eba kumpi,n’ennaku zaffe ne ziggwaayo.
19Abaatuyiganyanga baatusinga embirookusinga n’empungu ez’omu bbanga.Baatugobera mu nsozine batuteegera mu ddungu.
20Oyo Mukama gwe yafukako amafutayagwa mu mitego gyabwe.Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kyene tubeeranga mu mawanga.
21Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu,abeera mu nsi ya Uzi;naye lumu olinywa ku kikompen’otamiira ne weeyambula.
22Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo,talikwongerayo mu busibe.Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza,n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde.