Okukungubaga3lug_bib
1Nze muntu eyakangavvulwan’omuggo ogw’obusungu bwe.2Angobye mu maaso ge n’antambulizamu kizikiza, awatali kitangaala;3ddala, omukono gwe gunnwanyisizzaemirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna.4Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyangeera amenye n’amagumba gange.5Antaayizza n’anzijuzaobulumi n’okubonaabona.6Antadde mu kizikizang’abafu abaafa edda.7Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka,ansibye enjegere ezizitowa.8Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe,okusaba kwange akuggalira bweru.9Anteeredde amayinja mu kkubo lyangeera akyamizza amakubo gange.10Ng’eddubu bwe liteega,n’empologoma bwe yeekweka11yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagulan’andeka awo nga sirina anyamba.12Yanaanuula omutego gwe,n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe.13Yafumita omutima gwangen’obusaale okuva mu mufuko gwe.14Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna,era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde.15Anzijuzza ebikaawaera ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe.16Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka;anninnyiridde mu nfuufu.17Emmeeme yange terina mirembe,n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana.18Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,n’essuubi lyonna lye nalina mu Mukama limpeddeko.”19Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,n’obulumi n’obubalagaze.20Mbijjukira bulungiera bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa.21Ebyo byonna mbijjukira,kyenvudde mbeera n’essuubi.22Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.23Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.24Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.”25Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,eri oyo amunoonya.26Kirungi omuntu okulindiriraobulokozi bwa Mukama n’obukkakkamu.27Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kyemu buvubuka bwe.28Atuulenga yekka mu kasirisekubanga Mukama y’akimwambiseemu.29Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.30Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa,era amalibwe n’okuvumibwa.31Kubanga Mukama taligobera bantu bweruebbanga lyonna.32Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisakubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo.33Tagenderera kuleeta buluminewaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu.34Mukama akkiriziganyan’okulinnyirira abasibe,35n’okuggyako omuntu obwetwaze bwemu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo,36oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?37Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira,Mukama nga takiragidde?38Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo,si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza?39Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya,bw’abonerezebwa olw’ebibi bye?40Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,tudde eri Mukama.41Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffeeri Katonda mu ggulu, twogere nti,42“Twayonoona ne tujeema,tokyerabiranga era tonatusonyiwa.43“Ojjudde obusungu n’otugobaganya,n’otutta awatali kutusaasira.44Weebisseeko ekire,waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli.45Otufudde obusa n’ebisasiromu mawanga.46“Abalabe baffe bonna batwogerakoebigambo ebibi.47Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitegon’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.”48Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amazigaolw’okuzikirira kw’abantu bange.49Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amazigaawatali kusirika,50okutuusa Mukama lw’alisinziramu ggulu n’alaba.51Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.52Abalabe bange banjigganya olutatane baba ng’abayigga ennyonyi.53Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,ne bankasuukirira amayinja;54amazzi gaabikka omutwe gwange,ne ndowooza nti, nsanyeewo.55“Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,nga ndi mu bunnya wansi ennyo;56wawulira okwegayirira kwange: toziba matu goeri okukaaba kwange.”57Bwe nakukoowoola wansembereran’oyogera nti, “Totya!”58Mukama watunula mu nsonga yange,era n’onunula obulamu bwange.59Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola,obasalire omusango nga bwe kibagwanira.60Walaba bwe bampalana,n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira.61Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda,n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira,62obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bangebye bantesaako obudde okuziba.63Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;bannyooma nga bwe bannyimbirira.64Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda,olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe.65Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe,n’ekikolimo kyo kibabeereko.66Obayigganye mu busungu bwo obazikirizeng’osinziira mu ggulu lya Mukama Katonda.