Okukungubaga2lug_bib

1Obusungu bwa Mukama nga bubuubuukidde ku Muwala wa Sayuunine bumussa wansi w’ekire!Ekitiibwa kya Isirayiri, Mukama akissizza wansiokuva mu ggulu okutuuka ku nsi;ne yeerabira entebe ey’ebigere byeku lunaku lwe yasunguwalirako.
2Mukama azikirizzaabatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira;mu busungu bwe amenyeebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda;assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu ben’abamalamu ekitiibwa.
3Mu busungu obungiamaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza;bw’alabye omulabe ng’asembera,n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo;anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omulirobwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.
4Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe,era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu.Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaasomu weema ey’omuwala wa Sayuuni,okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze;obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.
5Mukama afuuse ng’omulabe;azikirizza Isirayiri,n’azikiriza embiri ze,n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi.Aleetedde muwala wa Yudaokweyongera okukaaba n’okukungubaga.
6Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro,era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu.Mukama yeerabizza Sayuuniembaga ze entukuvu ne ssabbiiti,era mu busungu bwe obungianyoomye kabaka ne kabona.
7Mukama atamiddwa ekyoto kye,n’alekulira n’ekifo kye ekitukuvu.Awaddeyo bbugwe w’embiri ze eri omulabe;era baleekaanidde mu nnyumba ya Mukama,ne baleetamu oluyoogaanonga ku lunaku olw’embaga entukuvu.
8Mukama yamalirira okumenyabbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni,n’agolola omuguwa ogupima,Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza.Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga,byonna ne biggweerera.
9Emiryango gye gisse mu ttaka,n’emitayimbwa gyagyo agimenye n’agyonoona.Kabaka we n’abakungu be baawaŋŋangusizibwa,eteri mateeka gaabwe agabafuga,era ne bannabbi be tebakyafunakwolesebwa kuva eri Mukama.
10Abakadde b’Omuwala wa Sayuunibatuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde;bayiye enfuufu ku mitwe gyabweera beesibye ebibukutu;n’abawala ba Yerusaalemibakotese emitwe gyabwe.
11Amaaso gange gakooye olw’okukaaban’emmeeme yange enyiikadden’omutima gwange gulumwaolw’okuzikirizibwa kw’abantu bange,n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikirawakati mu nguudo ez’omu kibuga.
12Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti,“Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?”nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundumu nguudo ez’ekibuga,nga bwe bakaabiramu bifuba bya bannyaabwe.
13Nnyinza kugamba ki,era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaakoggwe Omuwala wa Yerusaalemi?Kiki kye nnyinza okukufaananya,okukusanyusa ggweOmuwala Embeerera owa Sayuuni?Ekiwundu kyo kinene nnyo,kale ani ayinza okukiwonya?
14Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwookukuwonya obusibe.Engero ze baabanyumizangazaali za bulimba era eziwabya.
15Bonna abayitawobabakubira mu ngalone bafuuwa empa ne banyeenyezaomuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,“Kino kye kibuga ekyayitibwangaekituukiridde,era essanyu ly’ensi zonna?”
16Abalabe bo bonnabaasaamiridde nga beewuunya;nga bafuuwa empa, era baluma amannyonga boogera nti, “Tumuzikirizza.Luno lwe lunaku lwe twalindirira,kaakano lutuukiridde, era tululabye.”
17Mukama akoze kye yateekateeka,era atuukirizza ekigambo kyekye yalagira mu nnaku ez’edda.Akuzikirizza awatali kukusaasira,aleetedde omulabe wo okukusekerera,n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.
18Kaabirira Mukaman’eddoboozi ery’omwangukaggwe Omuwala wa Sayuuni.Leka amaziga go gakulukute ng’omuggaemisana n’ekiro.Teweewummuza so toganyamaaso go kuwummula.
19Golokoka, okaabe ekiroobudde nga bwa kaziba;Fuka emmeeme yo ng’amazzimu maaso ga Mukama.Yimusa emikono gyo gy’ali,olw’obulamu bw’abaana bo abatoabazirise olw’enjalamu buli luguudo.
20“Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire!Ani gwe wali obonerezza bw’otyo?Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe,abaana be bakuzizza?Ddala, bakabona ne bannabbi battibwemu watukuvu wa Mukama?
21“Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamumu nfuufu ey’enguudo;abavubuka bange ne bawala bangebattiddwa n’ekitala;obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo,era obasse awatali kusaasira.
22“Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga,bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna;era ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama,tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo;abo be nalabirira ne nkuza,omulabe wange be yazikiriza.”