Yobu30lug_bib
1“Naye kaakano bansekerera;abantu abansinga obuto,bakitaabwe be nnandibadde nteekawamu n’embwa ezikuuma endiga zange.2Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki?Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe,3abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala,bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro.4Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka,enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe.5Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe,ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi.6Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira,mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka.7Baakaabira mu bisaka ng’ensolone beekweka mu bikoola by’emiti.8Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa,baagobebwa mu nsi.9Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba;nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,10abatanjagala abanneesalako,banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.11Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi;beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange.12Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo;bategera ebigere byange emitego,ne baziba amakubo banzikirize.13Banzingizane banzikiriza,nga tewali n’omu abayambye.14Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi,bayingira nga bayita mu muwaatwa.15Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi;ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo,era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.”