Yeremiya6lug_bib

Abeesigwa Bagambibwa Okudduka

1Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini!Mmudduke muve mu Yerusaalemi.Fuuwa ekkondeere mu Tekowa,era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu:kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono,okuzikirira okw’entiisa.2Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni,omulungi oyo omubalagavu.3Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe.Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna,buli omu yeezimbire w’ayagala.
4“Mwetegeke mumulwanyise!Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu!Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo,n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!5Tugende, tulumbe kirotuzikirize amayumba ge.”6Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti,“Muteme emiti mukole entuumomuzingize Yerusaalemi.Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna,kubanga kijjudde bujoozi bwerere.7Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo,entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo.Obulwadde n’ebiwundubye ndaba buli bbanga.8Nkulabula,ggwe Yerusaalemi,emmeeme yange ereme okwawukana naawe,si kulwa ng’ofuuka amatongo.”9Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,“Balisusumbulira ddala n’abo abatonoabaliba basigaddewo mu Isirayiri.Ddamu oyise omukono mu matabing’omunozi we zabbibu bw’akola.”
10Ndyogera eri ani gwe ndirabula?Ani alimpuliriza?Amatu gaabwe gagaddwane batasobola kuwulira.Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali,tebakisanyukira n’akamu.11Kyenva nzijula ekiruyisikyasobola kukizibiikiriza.“Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;abaami awamu n’abakazi n’abakaddeabo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.12Enju zaabweziritwalibwa abalala,n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe;kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”bw’ayogera Mukama.13“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,buli omu alulunkanira kufuna.Nnabbi ne kabona bonnaboogera eby’obulimba.14Ekiwundu ky’abantu bangebakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi.Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’So nga tewali mirembe.15Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?Nedda.Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”bw’ayogera Mukama.16Kino Mukama ky’agamba nti,“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,era otambulire omwo,emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’17Nabateerawo abakuumi babategeeze nti,Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere,naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’18Kale muwulire,mmwe amawangaera mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.19Wuliriza, ggwe ensi:laba, ndeeta akabi ku bantu bano,by’ebibala by’enkwe zaabwe,kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byangen’etteeka lyange baligaanye.20Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”21Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano;bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko.Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”22Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti,“Laba, eggye lijjaeriva mu nsi ey’omu bukiikakkono,eggwanga ery’amaanyiliyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.23Bakutte omutego n’effumu,abakambwe abatalina kusaasira.Bawulikika ng’ennyanja ewuuma,nga beebagadde embalaasi zaabwe:bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalookulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”
24Tuwulidde ettutumu lyabwe;era emikono gyaffe giweddemu amaanyiokulumwa okunene kutukutten’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.25Togeza kugenda mu nnimironewaakubadde okutambulira mu kkubo;kubanga omulabe abunye wonna wonnan’entiisa ejjudde mu bantu.26Kale nno mmwe abantu,mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu;mukungubage ng’abakaabiraomwana owoobulenzi omu yekka.Kubanga oyo agenda okuzikirizaajja kutugwako mavumbavumba.
27“Nkufudde ekigezesaabantu bange n’ekyuma,osobole okulaba n’okugezesaamakubo gaabwe.28Bonna bakyewaggulaabakakanyavu abagenda bawaayiriza,bikomo era kyuma,bonna boonoonefu.29Emivubo bagifukuta n’amaanyi,omuliro gumalawo essasi,naye balongoosereza bwereerekubanga ababi tebaggyibwamu.30Baliyitibwa masengere ga ffeeza,kubanga Mukama abalese.”