Yeremiya4lug_bib
1“Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama,“eri nze gy’olina okudda.Bw’oneggyako eby’omuzizo byonnan’otosagaasagana,2era singa olayira mu mazima, mu bwenkanyaera mu ngeri entuufu yennyini nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu,’olwo amawanga gonna mu ye mwe gajja okuweerwa omukisaera mu ye mwe ganeenyumiririzanga.”3Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama eri abantu ba Yuda era n’eri abantu b’omu Yerusaalemi nti,“Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime,temusiga mu maggwa.4Mukoowoole Mukama,mweweeyo mutukuze emitima gyammwemwe abantu ba Yuda ne Yerusaalemi,obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro, olw’ebikolwa byammwe ebibi,ne wataba ayinza kubuzikiza.”