Isaaya57lug_bib

1Abantu abatuukirivu bazikirira,naye tewali akirowoozako n’akatono.Abantu abeewaddeyo eri Katondabatwalibwa nga tewali n’afuddeyo kukirowoozaako.Kubanga omutuukirivu aggyibwawoolw’akabi akagenda okujja.2Ayingira mu miremben’afuna okuwummulira mu kufa kwe,ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.
3“Naye mmwe mujje musembere wano batabani b’omukazi omufumuezzadde ly’omwenzi omukazi eyeetunda.4Muzannyira ku ani?Ani gwe mukongoolane mumusoomooza?Temuli baana ba bujeemu,ezzadde eryobulimba?5Mwaka ne mwegombera wansi w’emitina buli wansi wa buli muti oguyimiridde;mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvune wansi w’enjatika z’enjazi.6Bakatonda bo ge mayinja amaweweevu gosinziza mu biwonvu,abo be babo, obusika bwo;abo b’ofukira ekiweebwayo ekyokunywaera n’ebiweebwayo eby’empeke.Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka?7Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwendanga mugenze okuwaayo ssaddaaka.8Emabega w’enzigi zammwewe muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza.Mwandeka ne mukola eby’obuwemumu bitanda byammwe ebigazi.Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaanon’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.9Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivung’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo,n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda,kumpi batuuke n’emagombe.10Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyonaye teweegamba nako nti,‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.
11“B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza,n’olyoka olimba,nze n’otonzijukira n’akatonowadde okundowoozaako?Olw’okubanga nsirise n’esikunyegaky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso.12Nnaayolesa obutuukirivu bwo ne by’okola,naye tebigenda kukugasa.13Bw’okaabanga nga weetaaga obuyambi,leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule;naye empewo eribatwala,omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna.Naye oyo anfuula ekiddukiro kyealirya ensiera alitwala olusozi lwange olutukuvu.”

Ekisa eri Abeenenya

14Era kiryogerwa nti,“Muzimbe, muzimbe, mulongoose ekkubo!Muggyeewo enkonge zonna mu kkubo ly’abantu bange.”15Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali wagguluomugulumivu omulamu emirembe n’emirembe,ow’erinnya ettukuvu nti,“Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvuawamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,okuzzaamu amaanyiomwoyo gw’abakkakkamu,era n’ogw’abo ababoneredde.16Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembeera siribasunguwalira bbanga lyonna.Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba,emmeeme y’omuntu nze gye nakola.17Olw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu.Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obunginaye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.18Nalaba by’akola, naye ndimuwonya.Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.19Mirembe, era mirembe,eri abo abali ewala n’eri abo abali okumpi,era ndibawonya,” bw’ayogera Mukama.20Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse,eteyinza kutereera,ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka.21“Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bw’ayogera Katonda wange.