Isaaya55lug_bib

Abalumwa Ennyonta Bayitibwa

1“Kale mujje,mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi.Mujje mmwe abatalina ssente zigula,mujje muweebwe bye mwagala,envinnyo oba amata ebitali bya kugulaebitaliiko miwendo gya kusasula.2Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulyamuteganira ebyo ebitakkusa?Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi,emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.3Mumpulirize mujje gye ndi.Muwulirize mubeere balamu;nnaabakolera endagaano ey’olubeerera,era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.4Laba namufuula omujulirwa eri abantu,omukulembeze era omugabe w’abantu.5Laba oliyita amawanga g’otomanyi,era amawanga g’otomanyi galyanguwa okujja gy’oli.Kiribaawo olw’obuyinza bwa Mukama Katonda woera Omutukuvu wa Isirayirikubanga akugulumizza.”6Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika,mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.7Omubi aleke ekkubo lye,n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye.Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffekubanga anaamusonyiyira ddala.
8“Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammweera n’amakubo gammwe si ge makubo gange,”bw’ayogera Mukama.9“Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi,bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe,n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.10Era ng’enkuba bwetonnyan’omuzira ne gugwa okuva mu ggulun’ebitaddayo,wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula,ne bimerusa ensigo z’omusizi,era ne biwa omuli emmere,11bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri;tekiriddayo bwereere,naye kirikola ekyo kye njagalaera kirituukiriza ekyo kye nakituma.12Kubanga mulifuluma n’essanyune mugenda mirembe,ensozi n’obusozi nabyone bitandika okuyimba nga bibalabye,n’emiti gyonnane gitendereza n’essanyu.13Mu kifo ky’omweramannyo mulimeramu olusambya,ne mu kifo ky’omutovu mulimeramu omumwanyi.Era kino kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibweera ako ke kaliba akabonero akataliggwaawoak’emirembe n’emirembe.”