Isaaya51lug_bib

Okukubirizibwa Okwesiga Katonda

1“Mumpulirize,mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama:Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako,n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.2Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwene Saala eyabazaala.Kubanga we namuyitira yali bw’omune mmuwa omukisa ne mmwaza.3Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni;akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazikaera afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni,n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama;Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo,okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.
4“Mumpulirize, mmwe abantu bange;era muntegere okutu mmwe ensi yange.Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi,obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.5Obutuukirivu bwangebusembera mangu nnyo,obulokozi bwange buli mu kkubo.Era omukono gwange gujja kuleeta obwenkanya eri amawanga.Ebizinga birinnindirira era birindirire n’essuubi omukono gwange okubirokola.6Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu,mutunuulire ensi wansi!Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukkan’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo.Abagituulamu balifa ng’ensowera.Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna,so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
7“Mumpulirize,mmwe abamanyi obutuukirivu,eggwanga eririna amateeka gangemu mitima gyammwe.Temutya kuvumibwa bantuwadde okukeŋŋentererwa olw’okuyomba kwabwe.8Kubanga ennyenje ziribalya nga bwe zirya ebyambalo.N’obuwuka bubalye ng’obulya ebyoya by’endiga.Naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna.Obulokozi bwange bunywere emirembe gyonna.”
9Zuukuka,zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda.Kozesa amaanyi go otuyambe.Gakozese nga edda.Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi?Si ye ggwe eyafumita ogusota?10Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja,amazzi ag’obuziba obuwanvu ennyone gafuuka ekkuboabantu be wanunula bayitewo?11N’abo Mukama be wawonyabalikomawone bajja mu Sayuuni nga bayimba.Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe.Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.

Mukama Alinunula Abantu be

12“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi.Mmwe baani abatya omuntu alifa,n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,13ne weerabira Mukama Omutonzi woeyabamba eggulu,n’ateekawo n’emisingi gy’ensi,ebbanga lyonna ne mubeera mu kutyaobusungu bw’abo abakunyigiriza,oyo eyemalidde mu kuzikiriza?Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza?14Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa,tebalifiira mu bunnya,era tebalibulwa mmere gye balya.15Kubanga nze Mukama Katonda wo,asiikuula amayengo g’ennyanja ne gawuluguma:Mukama ow’Eggye lye linnya lye.16Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko,era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange.Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi;era nze wuuyo agamba Sayuuni nti,‘Muli bantu bange!’ ”

Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama

17Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemieyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe,eyanywa n’omaliramu ddalaekibya ekitagaza.18Ku baana aboobulenzi bonna be yazaalatewali n’omu wa kumukulembera.Ku baana bonna aboobulenzi be yakuzatewali n’omu wa kumukwata ku mukono.19Ebintu bino ebibiri bikuguddekoani anaakunakuwalirako?Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala,ani anaakubeesabeesa?20Batabani bo bazirise,bagudde ku buli nsonda y’oluguudong’engabi egudde mu kitimba.Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama,n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.
21Noolwekyo wulira kino ggwe, atamidde naye si lwa mwenge.22Bw’atyo bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,Katonda wo alwanirira abantu be.“Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawaolw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza.Temuliddayokukinywa nate.23Ndikiteeka mu mikono gy’abo abaababonyaabonya abaabagamba nti,‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’Emigongo gyammwe gibe ng’ettaka,ng’oluguudo olw’okulinnyirira.”