Isaaya5lug_bib

Olugero lw’Ennimiro y’Emizabbibu

1Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimbaolukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu.Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibuku lusozi olugimu.2Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna,n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi.Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa.N’agisimamu n’essogoleron’agisuubira okubala emizabbibu emirunginaye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.
3“Era kaakano abatuuze b’omu Yerusaalemi n’abasajja b’omu Yuda,munsalirewo nze n’ennimiro yange ey’emizabbibu.”4Ate kiki kye nandikoledde ennimiro yange eno,kye ssaagikolera?Bwe naginoonyamu emizabbibu emirungi,lwaki saalabamu mirungi?5Kaakano muleke mbabuulirekye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu.Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke.Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe.6Era ndigireka n’ezika,sirigirima wadde okugisalira.Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa.Ndiragira n’ebireobutatonnyesaamu nkuba.
7Ennyumba ya Isirayiriy’ennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu.Abantu ba Yuday’ennimiro gye yasiima.Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi.Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.
8Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina,n’ennimiro ne muzongerako endalane wataba kafo konna kasigadde,ne mubeera mwekka wakati mu nsi!9Mukama Katonda alayidde nga mpulira nti,“Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa,n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu.10Kubanga yika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu,n’ogusero ogw’ensigo, kabbo bubbo ak’amakungula.”
11Zibasanze abo abakeera enkya ku makyabanoonye ekitamiiza,abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde,okutuusa omwenge lwe gubalalusa!12Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere,n’omwenge ku mbaga zaabwe;naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda,wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.13Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋangusekubanga tebalina kutegeera.Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala,n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta.14Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago,era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo.Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwen’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu.15Buli muntu alitoowazibwa,abantu bonna balikkakkanyizibwaera amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe.16Naye Mukama Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya,era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.17Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo,n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.
18Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabweng’embalaasi bw’esika ekigaali.19Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe ky’anaakola.Entegeka z’omutukuvu wa Isirayiri nazo zijje,zituuke nazo tuzimanye.”
20Zibasanze abo abayita ekibi ekirungin’ekirungi ekibi,abafuula ekizikiza okuba ekitangaala,n’ekitangaala okuba ekizikiza,abafuula ekikaawa okuba ekiwoomereran’ekiwoomerera okuba ekikaawa.
21Zibasanze abo abeeraba ng’abalina amagezi,era abagezigezi bo nga bwe balaba.
22Zibasanze abo abazira mu kunywa omwengeera mu kutabula ekitamiiza,23abejjeereza abatemu olw’enguziera abamma abatuukirivu obwenkanya obubagwanidde.24Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu,era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro,bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda,era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu;kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda ow’Eggye,era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.25Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be,n’agolola omukono gwe n’abasanjaga,ensozi ne zikankanaera n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo.Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkanaera omukono gwe gukyagoloddwa.
26Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera,alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi,era laba,balyanguwako okujja.27Tewali n’omu akooye, tewali n’omu yeesittala.Tewali n’omu asumagira wadde okwebaka.Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye,wadde aliba n’olukoba lw’engatto olulikutuka.28Obusaale bwabwe bwogi,n’emitego gyabwe gyonna mireege.Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale,Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.29Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okw’empologoma,balikaaba ng’empologoma ento:weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwebagutwalire ddala awatali adduukirira.30Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabweng’ennyanja eyira.Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi,aliraba ekizikiza n’ennaku;n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.