Isaaya47lug_bib

Babulooni Esalirwa Omusango

1“Omuwala wa Babulooni embeerera,kakkana wansi otuule mu nfuufu,tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka,ggwe omuwala w’Abakaludaaya.Ekibuga ekitawangulwangako.Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.2Ddira olubengo ose obutta.Ggyako akatimba ku maaso,situla ku ngoye z’oku maguluoyite mu mazzi.3Obwereere bwo bulibikkulwa;obusungu bwo bulyeraga.Nzija kuwoolera eggwanga;tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”
4Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye,ye Mutukuvu wa Isirayiri.
5“Tuula mu kasiriseyingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya,tebakyakuyita kabaka omukaziafuga obwakabaka obungi.6Nnali nsunguwalidde abantu bange,ne nyonoonesa omugabo gwange.Nabawaayo mu mikono gyo,n’otobasaasira n’akatono.N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.7Wayogera nti,‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’naye n’otolowooza ku bintu binowadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.
8“Kale nno kaakano wuliriza kino,ggwe awoomerwa amasanyuggwe ateredde mu mirembe gyo,ng’oyogera mu mutima gwo nti,‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze.Siribeera nnamwanduwadde okufiirwa abaana.’9Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,eky’okufiirwa abaanan’okufuuka nnamwandu.Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu,newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira,n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.10Weesiga obutali butuukirivu bwo,n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya,bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’11Kyokka ensasagge erikujjiraera tolimanya ngeri yakugyeggyako;n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi;akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.
12“Weeyongere nno n’obulogo bwon’obufumu bwo obwayinga obungi,bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo.Oboolyawo olibaako kyoggyamu,oboolyawo olikolawo ekyobulabe.13Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya.Abalagulira ku munyeenye basembera,n’abo abakebera emmunyeenye,era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.14Laba, bali ng’ebisusunkuera omuliro gulibookya!Tebalyewonyamaanyi ga muliro.Tewaliiwo manda ga kukubugumyawadde omuliro ogw’okwota!15Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka;b’obonyeebonye nabob’oteganidde okuva mu buto bwo.Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi byeera tewali n’omu ayinza okukulokola.”