11“Laba, abo bonna abakukambuwaliddebalikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku.Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasane baggwaawo.12Olibanoonya abo abaakukijjanyanganaye n’otobalaba.Abo abaakulwanyisangabaliggwaamu ensa.13Kubanga nze Mukama Katonda woakukwata ku mukono ogwa ddyo,nze nkugamba nti,Totya nze nzija kukuyamba.14Wadde ng’oli lusiriŋŋanyitotya, ggwe Isirayiri,kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,Omutukuvu wa Isirayiri.15“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo,ekyogi eky’amannyo amangi.Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala,obusozi ne mubufuula ebisusunku.16Oliziwewa empewo n’ezifuumula,embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye.Era naawe olisanyukira mu Mukama,era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”
Mukama Ayimusa Isirayiri
17“Abaavu n’abali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzine baganoonya naye ne gababula,ate nga ennimi zaabwe zikaze,nze Mukama ndibawulira,nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.18Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu,era n’ensulo wakati mu biwonvu.Olukoola ndirufuula ennyanja,n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.19Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya,omumwanyi n’omuzeyituuni,ate nsimbe mu ddunguenfugo n’omuyovu awamu ne namukago.20Abantu balyoke balabe bamanye,balowoozeera batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino,nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”
Mukama Asoomooza Bakatonda Abalala
21Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti,“Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere.Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bw’ayogera Kabaka wa Yakobo.22“Baleete bakatonda bwabwebatubuulire ebigenda okubaawo.Batubuulire n’ebyaliwo emabega,tusobole okubimanya,n’okubirowoozaakon’okumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.23Mutubuulire ebigenda okubaawotulyoke tumanye nga muli bakatonda.Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibitulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.24Laba, temuliiko bwe muline bye mukola tebigasa.Abo ababasinza bennyamiza.25Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange,abeera mu buvanjuba.Alirinnyirira abafuzi ng’asamba ettaka,abe ng’omubumbi asamba ebbumba.26Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye,eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’Tewali n’omu yakyogerako,tewali n’omu yakimanyaera tewali n’omu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.27Nasooka okubuulira Sayuuniera ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi.28Naye tewali n’omu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino.Tewali n’omu awa bigambo biruŋŋamya,tewali n’omu addamu bwe mbuuza.29Laba, bonna temuli nsa!Bye bakola byonna tebigasa.Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”