Zibasanze abo Abeesiga Misiri
1Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa,abeesiga embalaasi,abeesiga amagaali gaabwe amangi,abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasine batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiriwadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.2Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi;tajjulula bigambo bye.Aligolokokera ku nnyumba y’abatali batuukirivu,ne ku abo abayamba abakozi b’ebibi.3Naye Abamisiri bantu buntu si Katondan’embalaasi zaabwe mibiri bubiri.Katonda bw’agolola omukono gweoyo ayamba, alyesittala,n’oyo ayambibwa aligwaera bombi balizikiririra wamu.4Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti,“Ng’empologoma bwe wuluguma,empologoma ey’amaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayoera newaakubadde ng’ekibinja ky’abasumbakiyitibwa awamu okugirumba,tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe,newaakubadde oluyoogaano lwabwe.Bw’atyo ne Mukama Katonda ow’Eggye bw’aliserengeta,okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.5Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi;alikikuuma, n’akiwonya,alikiyitamu n’akirokola.”6Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri.7Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.8“Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu;ekitala ekitali ky’abo abafa kirimusaanyaawo.Alidduka ekitala,n’abavubuka be balikozesebwa emirimu egy’amaanyi n’obuwaze.9Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya,n’abaduumizi baabwe balitekemuka omutima olw’okulaba ebbendera ey’olutalo,”bw’ayogera Mukamanannyini muliro oguli mu Sayuuni,era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.