Isaaya25lug_bib

1Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,kubanga okoze ebintu eby’ettendo,ebintu bye wateekateeka edda,mu bwesigwa bwo.2Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro,ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo,ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga,tekirizimbibwa nate.3Abantu ab’amaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwan’ebibuga eby’amawanga ag’entiisa birikutya.4Ddala obadde kiddukiro eri abaavu,ekiddukiro eri oyo eyeetaaga,ekiddukiro ng’eriyo embuyagan’ekisiikirize awali ebbugumu.Omukka gw’ab’entiisaguli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge5era ng’ebbugumu ery’omu ddungu.Osirisa oluyoogaano lw’abannaggwanga,era ng’ekisiikirize eky’ekire bwe kikendeeza ebbugumu,n’oluyimba lw’abakambwe bwe lusirisibwa.
6Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerakoabantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi,n’embaga eya wayini omukan’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.7Ku lusozi luno alizikirizaekibikka ekyetoolodde abantu bonna,n’eggigi eribikka amawanga gonna,8era alimalirawo ddala okufa.Mukama Katonda alisangula amazigamu maaso gonna,era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu bemu nsi yonna.Mukama ayogedde.9Mu biro ebyo balyogera nti,“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;twamwesiga n’atulokola.Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”
10Ddala omukono gwa Mukama Katonda guliwummulira ku lusozi luno,naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we,ng’essubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa.11Aligolola emikono gye,ng’omuwuzi bw’agolola emikono gye ng’awuga.Katonda alikkakkanya amalala genewaakubadde ng’emikono gye gikola eby’amagezi.12Alimenya bbugwe omuwanvu,n’amusuula,alimusuula ku ttaka,mu nfuufu.