Isaaya22lug_bib

Obunnabbi Obufa ku Yerusaalemi

1Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa:Kiki ekikutawanya kaakano,n’okulinnya n’olinnya waggulu ku busolya,2ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano,ggwe ekibuga eky’amasanyu era eky’ebinyumu?Abantu bo abattibwa,tebaafa kitala newaakubadde okufiira mu lutalo.3Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu;bawambiddwa awatali kulwana.Bonna baakwatibwa ne batwalibwa wamu nga basibe,kubanga badduka.4Kyenava njogera nti, “Munveeko,mundeke nkaabire ddala nnyo.Temugezaako kunsaasiraolw’okuzikirizibwa kw’omuwala w’abantu bange.”
5Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunakuolw’akatabanguko,olw’okulinyirirwa n’entiisa mu Kiwonvu ky’Okwolesebwa;olunaku olw’okumenya bbugwe,n’okukaabirira ensozi.6Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,n’atwala n’abavuzi b’amagaali ge n’embalaasi,Kiri asabuukulula engabo.7Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali,n’abeebagala embalaasi bassibbwa ku wankaaki.
8Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo.Ku lunaku olwo watunuuliraebyokulwanyisa eby’omu Lubiri olw’Ekibira.9Walaba amabanga agaali mu kwerindakw’Ekibuga kya Dawudi,wakuŋŋaanya amazzimu Kidiba eky’Emmanga.10Wabala ebizimbe mu Yerusaalemin’omenya amayumba okusobola okunyweza bbugwe.11Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri,n’okuŋŋaanya ag’ekidiba ekikadde,naye tewatunuulira Oyo eyakisima,wadde okussaamu ekitiibwa Oyo eyakiteekateeka mu biro eby’edda.
12Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggyeyalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,n’okwemwako enviirin’okwambala ebibukutu.13Naye laba, ssanyu na kujaguza,okubaaga ente n’okutta endiga,okulya ennyama n’okunywa envinnyo.Mwogere nti, “Leka tulye, era tunywekubanga enkya tunaafa.”14Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.15Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,“Genda eri omuwanika oyo,eri Sabuna avunaanyizibwa olubiri omugambe nti,16Okola ki wano era ani yakuwadde olukusaokwetemera entaana wano,n’otema n’amaanyi entaana yo waggulu mu lwazi,ne weerongoosereza eyo ekifo eky’okuwummuliramu?
17“Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira,akuggyewo ggwe omusajja ow’amaanyi.18Alikuzingazingako,n’akukanyuga mu nsi engazi, nga bwe yandikanyuze omupiira ogusambwa.Eyo gy’olifiira,era eyo amagaali go ag’ekitiibwa gye galisigala,ggwe ensonyi ez’ennyumba ya Mukama wo.19Ndikuggya ku ntebe yo,era oliggyibwa mu kifo kyo.20“Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya.21Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda.22Ndimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo.23Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.24Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”25Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.