Isaaya16lug_bib

1“Muweereze abaana b’endigaeri oyo afuga ensi,okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu,okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.2Ng’ennyonyi ezabulwako ekisun’ezisaasaana nga zidda eno n’eri,bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabuawasomokerwa Alunooni.
3“Tuwe ku magezi,tubuulire, tukole tutya?Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluzewakati mu ttuntu,Abajja bagobebwa mubakweke,abajja badaaga temubalyamu lukwe.4Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe.Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.”Omujoozi bw’aweddewo,n’okubetentebwa ne kuggwaawo;omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.5Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala,era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudialamula mu bwesigwaera anoonya obwenkanyaera ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.
6Tuwulidde amalala ga Mowaabu,nga bw’ajjudde okwemanya,n’amalala ge n’okuvuma;naye okwemanya kwe tekugasa.7Noolwekyo leka Mowaabu akaabe,leka buli muntu akaabire ku Mowaabu.Mukungubage,musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.8Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze,n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo.Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddalaemiti gyabwe egyasinganga obulungi,egyabunanga ne gituuka e Yazeringa giggukira mu ddungun’emitunsi nga gibunanga gituukira ddala mu nnyanja.9Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaabaolw’omuzabbibu ogw’e Sibuma.Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange,ggwe Kesuboni ne Ereyale:kubanga essanyu ery’ebibala byon’ebyokukungula byo lizikiziddwa.10Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala;ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana;mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo;okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.11Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga,emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.12Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu,alyekooya yekka;bw’aligenda okusamira,tekirimuyamba.13Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda.14Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”