Isaaya15lug_bib

Obunnabbi Obukwata ku Mowaabu

1Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwane kimalibwawo.Kiiri ekya Mowaabu nakyone kizikirizibwa mu kiro!2Abantu b’e Diboni bambuse ku lusoziokukaabira mu ssabo lyabwe.Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba.Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviirina buli kirevu kyonna kimwereddwa.3Beesibye ebibukutu mu nguudo;ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba.Buli muntu atema emirangan’abikaabira amaziga amayitirivu.4Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi.Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.
5Omutima gwange gukaabira Mowaabu;abantu be babundabunda, baddukira e Zowaaline Yegulasuserisiya.Bambuka e Lakisinga bwe bakaaba;bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimunga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.6Amazzi g’e Nimulimu gakalidde,omuddo guwotose,omuddo omugonvu, guggwaawo,tewali kintu kimera.7Abantu basomoka akagga ak’enzingunga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.8Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu;amaloboozi gatuuse e Yegalayimu,n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.9Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi,naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni;empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu,ne ku abo abalisigalawo ku nsi.