Isaaya14lug_bib
1Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa,addemu alonde Isirayiriabazze ku ttaka lyabwe.Ne bannamawanga balibeegattakoera babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.2N’amawanga mangi galibayambaokudda mu nsi yaabwe,n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantuabamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.Baliwamba abaali babawambye,bafuge abo abaabakijjanyanga.3Awo olunaku Mukama Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa,4oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti:Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo!Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!5Mukama Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi,omuggo gw’obwakabaka ogw’abo abafuga.6Ogwakubanga olutataamawanga n’obusungu,ogwafugisanga amawanga ekiruyi,ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza.7Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe,era batandise okuyimba.8Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni,nagyo gikuyeeyeereza nti,“Kasookanga ogwatebangayo ajja kututema.”9Amagombe wansi gagugumuka ku lulwookukusisinkana ng’ojja,gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo,bonna abaali abakulembeze b’ensi;gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe,bonna abaali bakabaka baamawanga.10Abo bonna balyogerane bakugamba nti,“Naawe oweddemu amaanyi nga ffe!Naawe ofuuse nga ffe!”11Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe,awamu n’amaloboozi g’ennanga zo;bakwalidde envunyu,n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko.12Ng’ogudde okuva mu ggulu,ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya!Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka,ggwe eyamegganga amawanga!13Wayogera mu mutima gwo nti,“Ndirinnya mu ggulu,ndigulumiza entebe yangeokusinga emunyeenye za Katonda;era nditeeka entebe yange waggulu ntuuleku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;14ndyambuka okusinga ebire we bikoma,ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”15Naye ossibbwa wansi emagombe,ku ntobo y’obunnya.16Abo abanaakulabanga banaakwekalirizangabakwewuunye nga bagamba nti,“Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi,ng’anyeenyanyeenya obwakabaka!17Eyafuula ensi okuba eddungun’asuula ebibuga byayo,atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”18Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa,buli omu mu ntaana ye,19naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo gong’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa,ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala,abakka eri amayinja g’obunnya;ng’omulambo ogulinyiriddwa.20Toligattibwa n’abo mu kuziikibwakubanga wazikiriza ensi yo n’otta abantu bo;ezzadde ly’abo abaakola ebibiteriryongerwako n’akatono.21Mutegeke ekifo batabani be we banattirwaolw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe,baleme okugolokoka ne balya ensi,ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe.22“Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye,“ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo,n’omwana n’omuzzukulu,”bw’ayogera Mukama Katonda.23“Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu,n’entobazziera mwere n’olweyo oluzikiriza,”bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.