Isaaya10lug_bib
1Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,2okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe,ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe,n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!3Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusangone mu kuzikirira okuliva ewala?Muliddukira w’ani alibayamba?Obugagga bwammwe mulibuleka wa?4Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibeoba okuba mu abo abattiddwa.Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.