Koseya11lug_bib

Okwagala kwa Katonda eri Isirayiri

1“Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala,era namuyita okuva mu Misiri.2Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri,nabo gye beeyongeranga okusemberayone bawaayo ssaddaaka eri Babaali,ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.3Nze nayigiriza Efulayimu okutambula,nga mbakwata ku mukono;naye tebategeeranga nze nabawonya.4Nabakulembera n’emiguwa egy’okusaasira okw’obuntu,n’ebisiba eby’okwagala.Naggya ekikoligo mu bulago bwabwene neetoowaza ne mbaliisa.
5“Tebaliddayo mu nsi ya Misiri,era Obwasuli tebulibafugakubanga baagaana okwenenya?6Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwene kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe,ne kikomya enteekateeka zaabwe.7Abantu bange bamaliridde okunvaako.Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo,taabagulumize.
8“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?Omutima gwange gwekyusiza munda yange,Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.9Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli,so siridda kuzikiriza Efulayimu;kubanga siri muntu wabula ndi Katonda,Omutukuvu wakati mu mmwe:sirijja na busungu.10Baligoberera Mukama;era aliwuluguma ng’empologoma.Bw’aliwuluguma,abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.11Balijja nga bakankanang’ebinyonyi ebiva e Misiri,era ng’enjiibwa eziva mu Bwasuli.Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,”bw’ayogera Mukama.

Ekibi kya Isirayiri

12Efulayimu aneebunguluzza obulimba,n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa,ne Yuda ajeemedde Katonda,ajeemedde omwesigwa Omutukuvu.