Abaebbulaniya6lug_bib
1Noolwekyo tulekeraawo okuyiga ebintu bya Kristo ebisookerwako, tukule mu by’omwoyo. Tulekeraawo okwogera ku bisookerwako byokka, ng’okwenenya ebikolwa ebireeta okufa, by’ebikolwa eby’obulombolombo, naye tuteekwa n’okuba n’okukkiriza mu Katonda.2Tulekeraawo okuyigiriza obulombolombo obw’okubatizibwa, n’obw’okussibwako emikono, n’enjigiriza ey’okuzuukira kw’abafu, n’okusalirwa omusango ogw’olubeerera.3Katonda nga bw’asiima, tukule mu mwoyo.4Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi eby’omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu,5ne bamanya obulungi bw’ekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi ag’emirembe egigenda okujja,6naye ne bava ku Katonda. Baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu.7Ettaka ligasa omulimi, bwe lifuna obulungi enkuba, ne lisigibwamu ensigo era ne muvaamu ebibala ebirungi. Ne Katonda aliwa omukisa.8Naye bwe libaza amatovu, n’amaggwa, ettaka eryo teriba lya mugaso liba kumpi n’okukolimirwa. Ku nkomerero, ebimezeeko byokebwa.9Naye abaagalwa, newaakubadde twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusa. Tumanyi nga mulina ebintu ebirungi era mukola ebintu ebiraga nti muli mu kkubo ery’obulokozi.10Kubanga Katonda mwenkanya tayinza kwerabira mulimu gwammwe omunene bwe gutyo, n’okwagala kwe mwagala erinnya lye, era amanyi bwe mwaweereza abantu be, era bwe mukyeyongera okubaweereza.11Era twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okulaganga obunyiikivu obwo okutuusiza ddala ku nkomerero, lwe mulifuna ekyo kye musuubira.12Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ng’abo abakkiriza era abagumiikiriza ne bafuna ekyasuubizibwa.