Kaabakuuku1lug_bib

1Buno bwe bubaka bwa Mukama, Kaabakuuku nnabbi bwe yafuna.

Kaabakuuku Yeemulugunya olw’Obutali Bwenkanya

2Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabiriranaye nga tompuliriza?Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,”naye n’otonnyamba?3Lwaki ondaga obutali bwenkanyaera lwaki ogumiikiriza obukyamu?Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange,empaka n’ennyombo byeyongede.4Amateeka kyegavudde gatagonderwaera n’obwenkanya ne butakolebwa.Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde,n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.

Okuddamu kwa Mukama

5“Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo.Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwegwe mutalikkirizanewaakubadde nga mugubuuliddwa.6Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya,eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe,ababunye ensi eno n’eringa bawamba amawanga agatali gaabwe.7Ba ntiisa, batiibwa,be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola,nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.8Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo,era mu bukambwe zikira emisege egy’ekiro.Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi ey’ewalaera bajja beesaasaanyizzane banguwa okutuuka ng’ensega bw’erumba ky’eneerya.9Bajja n’eryanyi bonna,ebibinja byabwe birumba ng’embuyaga ey’omu ddungu;ne balyoka bayoola abawambe abangi ng’omusenyu.10Weewaawo, basekerera bakabakane baduulira n’abakungu.Basekerera buli kibuga ekiriko ekigone bakituumako ebifunfugu ne balinnyira okwo, ne bakiwamba.11Awo ne bayita nga bakunta ng’embuyaga;abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”

Kaabakuuku Yeemulugunya Ogwokubiri

12Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe,ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa.Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango.Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.13Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi,so toyinza kugumiikiriza bukyamu.Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe,n’osirika ng’omubi amalirawo ddalaomuntu amusinga obutuukirivu?14Kubanga abantu obafudde ng’ebyennyanja eby’omu nnyanja,ng’ebitonde eby’omu nnyanja ebitaliiko abifuga.15Omulabe omubi abakwata bonna ng’eddobo,oluusi n’abawalula mu katimba ke,n’abakuŋŋaanya mu kiragala kyen’alyoka asanyuka n’ajaguza.16Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ken’ayotereza n’ekiragala kye obubaane;akatimba ke kamuwa obulamu obw’okwejalabya,n’alya emmere ey’ekigagga.17Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe,n’okusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?