Abaggalatiya6lug_bib
1Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.2Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo.3Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bw’ali, yeerimbarimba.4Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala.5Kubanga buli muntu aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe.6Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, agabanirenga wamu n’amuyigiriza ku birungi byonna by’alina.7Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu ky’asiga era ky’alikungula.8Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo.9Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi.10Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala ab’omu nnyumba ey’okukkiriza.