Okuva31lug_bib
Okulondebwa kw’Abakozi
1Awo Mukama n’agamba Musa nti,2“Laba, nnonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda;3era mmujjuzza Omwoyo wa Katonda, n’okumanya, n’obusobozi n’amagezi mu kukola ebitali bimu ebyemikono4okutetenkanya ebintu ebinaakolebwa mu zaabu ne ffeeza n’ekikomo, nga bwe binaafaanana,5okwola amayinja n’okugategeka, n’okwola emiti, era n’okukola byonna ebyemikono ebya buli ngeri.6Ate mmulondeddeko Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki, ow’omu kika kya Ddaani, okumuyamba.“Era abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri, mbawadde amagezi okukola bino byonna bye nkulagidde:7“Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’Essanduuko ey’Endagaano n’ekibikkako eky’entebe ey’okusaasira, awamu n’ebikozesebwa byonna mu Weema,8emmeeza n’ebigenderako, ekikondo ekya zaabu omuka eky’ettaala n’ebigenderako, n’ekyoto eky’obubaane,9n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebigenderako, n’ebbensani ne kw’etuula;10n’ebyambalo ebyalukibwa obulungi, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni, kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye baweererezaamu mu bwakabona;11n’amafuta ag’okufukibwa, n’ebyakaloosa akalungi ak’omu Kifo Ekitukuvu.
“Byonna babikole nga bwe nakulagira.”